• LYRICS • view

Chorus
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuliyambala engule, tuliyambala engule
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

Never, Never and Never again, shall it be that this beautiful Nation
Will again experience the oppression of one by another
And bear the indignity of being the skunk of the world 
[Nelson Mandela]

Act
Yagayagayagayaaa

Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuliyambala engule, tuliyambala engule
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

Tuliyambala, (tuliyambala) x2
Ehehehe
Engule ezimasamasa
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

Obusosozze
{Nubian Li}
Obusossozze nga buwedde
Tuliyambala engule
N'enguzi nga ewedde, tuliyambala engule
N'ekibbattaka nga kiwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya 

{Dr. Hilderman}
Oh tear gas!
Tear gas ng'awedde, tuliyambala engule
Ehhh, obwa nakyemalira nga buwedde, tuliyambala engule
Obukenuzi nga bugenze, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

Tuliyambala
Tuliyambala, (tuliyambala) x2
Engule ezimasamasa (Ezimasamasa)
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

{Irene Namatovu}
Obuyinza mu mikono gy'abantu, eyo y'ensi ensubize
Bwetuliba nga tebakyatuffugisa mundu, mu nsi ensubize
Mu gwanga ely'amazima n'obwenkanya, eyo y'ensi ensubize
Tulinyumirwa Uganda eyo

{Bobi Wine}
Kale Nno Ffuna Endagamuntu
Osobola Okwebereramu
Nokukyusa ebikunyiga
Ago amanyi tugalina
Era, People Power nga ewangudde
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa Uganda empya

{King Saha}
Omusolo nga gukendedde
Tuliyambala engule
Abalimi nga bafunye akatale
Tuliyambala engule
Nga munsi yo olina eddembe
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya

{Irene Ntale}
Amalwaliro nga gateredde
Tuliyambala engule
Nga tetukyaffa nga tuzaala
Nga buli kikyamu kiteredde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya

{Pr. Wilson Bugembe}
Mukozesse mirembe, temulwana
Tuliyambala engule
Mwena muli baana ba Ruhanga
Tuliyambala engule
Banauganda tuli ba luganda
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa uganda eyo

Tuliyambala, (tuliyambala) x2
Engule ezimasamasa (Ezimasamasa)
Olutalo nga luwedde, tuliyambala engule
Tuli vimba mu Uganda Empya

Uploaded on Jan 01, 2019

Bobi Wine - Tuliyambala Engule ft Nubia Li, King Saha, Pr. Wilson Bugembe, Dr. Hilderman, Irene Namatovu, Irene Ntale - music Video

Share this Video

  • 1101
  • Views

Comment on "Bobi Wine - Tuliyambala Engule ft Nubia Li, King Saha, Pr. Wilson Bugembe, Dr. Hilderman, Irene Namatovu, Irene Ntale video "

  • LIKE GOSPEL MUSIC ON FACEBOOK :