• LYRICS • view

NSANGI LYRICS

INTRO (GagamaGoo Kinene M.B.):

Nzijukira bwaali kiro, Tutudde ku lujjuliro,

Twaakamala okuly’ekyeggulo,(Ohh).

 Jjajja n’agera akagero.

 

VERSE 1 (GagamaGoo Kinene M.B.):

Omukyaala n'azaala omwaana we n'amutuuma Nsangi

Ku kaalo kwebaali kwaaliko amazike mangi

Gaatwaala ng’abaana entyaaji okubakjola mu sausage

Era omukyaala ono bweyazaala geeyagala, gaafuna essanyu lingi

Ng’essaniya y’omuceere mu maaso ga hajji

Amazike gabatambuliza nga ko eliiso eggyoji

Kko maama Nsangi “Lek’oti, bino tebiibe birungi”

Ng’atwaala Nsangi, amukweeka mu mpuku nga maaya bw’ekweeka amagi

Buli lunaku yamutwaaliranga ku kalo n’amazzi, ob’oly’awo n’obuuji

Naye bweyatuukanga ku mpuku bwati bweyakonkonanga ku lujji

Yayimbanga mu kaloboozi akaseeneekerevu obulungi

 

Brigde (Winnie):

Nsangi Nsangi Nsangi

Tonnamera bbeere,

 bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe

 

HOOK(Winnie Nakabugo):

  Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

  Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

VERSE 2 (GagamaGoo Kinene M.B.):

Nsangi ky’ava aggulawo nga nnyina amuwa emmere ng’alya,

Ne bakola nga bwebatyo emirundi mingi ,kumbe eri amazike gayoya,

Nsangi is their desire nnyina yamukeeka tegalaba gyeyamussa kyokka ggo gaayuuya,

So when she went there gaamukeetta, tegazudde empuku weeri, they acted wise like Mr. Hare,

Olumu one hid somewhere, liwulirize nnyina bw’ayimba lifune idea,

Bwelyadda enkeera lyayimba mu guloboozi gugulumivu,

And this voice sounded so queer in Nsangi critical ear,

Teyaggulawo kuba yali muyivu nti “Maama wange ayimba mu kaloboozi kaseeneekerevu”,

Ezzike lyaddayo nelimusalira amagezi neliyiiya,

Lyewera nti “neemmukwaatako I will crunch her like bagiya”,

Kirabika lyaarekera okuly’amasavu nelidda ku menvu lisobole okukola akaloboozi akabalagavu,

Waayitawo akabanga ssi kawanvu lyaddayo mu kiwonvu heading to Nsangi’s cave,

Lyaali linyiikivu ku luno lyaalumba na bumalirivu,

Bwelyaatuuka kumpuku neliyimba mu kaloboozi akaseeneekerevu, ate tagguddeewo,

 

HOOK(Winnie Nakabugo):

  Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

  Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

 

VERSE 3 (GagamaGoo Kinene M.B.)

Nga omukyaala ono bweyazaala Nsangi,

Ne KATONDA Yatutonda n’atussa ku “nsi ffe ba‘Nsangi’”,

Amazike amangi by’ebikolwa bya sitaani ebingi zino ensangi,

Biwooma, binyuma, bisikirizza bangi, awo ss’abazike sitaani ab’ayimbye bulungi,

Akutte kumitima gy’abangi tumuggulidde enziji,

Gw’okanya kweyita juwaaji kumbe sitaani mmutima gwo yeelisa nkuuli,

Mbu life is red hot like chilli, bakakanyazza emitima they ain’t willin’ to change,

All in the devil’s trap ng’entungo mu kyaaji baniigina ng’embwa ezikkuse ekipooli,

Gwe kyappiri nkusuulidde essuula wuliriza olunyiriri,

(Nsangi Nsangi) Nsangi turn  the page ekisa kya Mukama kingi,

(Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe),

Nze naawe GOD Will take us away back home kulunaku luli,

Ekyeebuuzibwa kiri, are we ready, twaameze ebbeere ffe okugenda eyo Gyaali,

What if HE cometh back and finds you not ready,

Therefore kyali ebikujja ku Katonda kyesaleko suula eri wabbali.

 

HOOK(Winnie Nakabugo):

  Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

Nsangi Nsangi Nsangi (Nsangi)

Nsangi mwaana wange (Nsangi)

(Akonkona ku lujji ly’omutima gwo, Muggulire)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

  Nsangi Nsangi (GagamaGoo)

Tonnamera beere bw’orimera ebbere Nsangi ndigenda naawe (Nsangi)

Uploaded on Nov 28, 2016

Gagamagoo - Nsangi - music Video

Share this Video

  • 264
  • Views

Comment on "Gagamagoo - Nsangi video "

  • LIKE GOSPEL MUSIC ON FACEBOOK :