GAGAMAGOO LYRICS

"ANAMPANGUZA" From NSANGI

ANAMPANGUZA {Romans 7:15,24}

INTRO [GagamaGoo Kinene M.B.]:

MUKAMA Yamba

Guno omubiri gulimba!!

Kibi nnyo nti embala ya Adamu eno gyendimu

Ebya YESU ssikyasobola bbivaamu

Wabula neetaaga deliverance-kusumululwa

 

VERSE 1[GagamaGoo Kinene M.B.]:

okuva-mu buno obwenzi, obukaba, n’emize gy’ekivubuka ng’okwaaka

Ebinsuza nkukunadde-nsula mukuwankawanka

Tuttunka, kilabika mmutwe nyinamu ekiwuka

Laba mmala kwekoona nenzijukira okubuuka,

Kyokka nebwembuuka, maliriza ndi ku ttaka

Ngwa nemmenyeka, ssirina anampeeka, bonna bankeneka

MUKAMA Weebazibwe nti mpalilizibwa nennyimuka

Ntambula mpenyera, bwenseerera nengwa-bwennyimuka

Am as tho a weakling ssiwera nninga omulwadde wa cholera-bindeeze enkaka

Biwoomerera ndaba ngenderera,

Mpozzi nga ssaalokoka YESU mpozzi nga tewanfiirira banfera

Ndi mwaana Wo tebimaleewo no t’Olindeka nzekka

Tebinkorera – nyimusizza amaaso Gy’Oli Nsobozesa okubisomoka

 

CHORUS [Price Love]:

On this road to Canaan’s land

Am lettin’ go and lettin’ You

I surrender all to You,

I will carry my cross follow you

Day to day nze nkweekutte

Ye Ggwe Anansomosa

Ye Ggwe Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

 

VERSE 2[GagamaGoo Kinene M.B.]:

(Now I come face to face with myself

I got issues

MUKAMA Nyamba ssaagala kuswaala)

 

Ngalaamilizza kakeeka, ssikyeetegeera nkwaatibbwa amateeka

Ndi mukkomera mpeekeera omulabe ansekerera, anteeka

Laba ansimidde obunya nsitula nzirukidde gy’Oli Anampeeka,

Mmaze ebbanga ng'emikono gy’Oli mpanika, jinfuuyirira

Nkweegayirira MUKAMA Yimuka wansi w’Omukono gwo nkweeka

Nnumwa nnyo buli lwebuwungeera, nkaaba era

Anti mukiro mbeera ng’atalaba era ntambula ntomeratomera

Ndi munafu nkekkera, nga ttooto mu nzikiza buli akakoona nkeekengera

Omubi aweerezza ebizuka bijja byemoolamoola maliriza mmegerera

Mbeera YESU Nkulembera ogwange ngwetisse ngoberera

Tuli mu dduka dduka lutalo ddala

Tulwaana n’embala yebbala ly’ekibala Adam gy’eyatulekera

 

CHORUS [Price Love]:

On this road to Canaan’s land

Am lettin’ go and lettin’ You

I surrender all to You,

I will carry my cross follow you

Day to day nze nkweekutte

Ye Ggwe Anansomosa

Ye Ggwe Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

 

Verse 3(GagamaGoo Kinene M.B…)

Buli gwensobezza nkweetondera

Nakwata ekirima nentunula emabega-Nsangi amazike gamweggweera

Ekibi kibi kuba kufa kwekyandeetera y'empeera, kyandeka nkweebera

Kinnuma okuba nga byenjagala ssi byenkola oluusi ssigenderera

Nyimusa’amaaso gy’Oli Aleeta essanyu enkeera

Kisa kyo kiddizibwa bujja buli olukeera

Yenze, nga bwendi Gy'Oli nzize

Nkweetaaze Oli Waggulu Wabuli mbeera

Kinfuukidde ezzike kuva ku adam kilondoola nze kingoberera

Nzunga ng'ensowera YESU Bw'Otambeera zinsanze

Emberenge evunze ensi efunze

Mu bitonde byonna kunsi teri kisinga Kukwetaaga nga nze

 

CHORUS [Price Love]:

Mmanyi byenjagala ssi byenkola

Byessaagala ate byenkola

But am pressing on

Towards the mark

To win the prize

In Jesus..

In Jesus…

Mmanyi byenjagala ssi byenkola

Byessaagala ate byenkola

But am pressing on

Towards the mark

To win the prize

In Jesus..

In Jesus…

 

Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

Anampanguza…

 

 

 

Outro (GagamaGoo Kinene M.B…)

(Exodus 33:20)No man sees GOD & still lives

No man sees CHRIST & still sins

 

 

Thanks be to God Kuba nfudde eri ekibi omubiri gw’Adamu

Kati Ndi mulamu Mu YESU Ekkubo

Amazima n’Obulamu obutagwaawo

 

"I have been crucified with Christ, nevertheless I live, yet not I, but Christ lives in me”. Galatians 2:20

"It is the Spirit who gives life; the flesh profits nothing”. John 6:63

"For I know that nothing good dwells in me, that is, in my flesh”. Roman 7:18

WRITTEN BY
GAGAMAGOO


Comment on "Gagamagoo - Anampanguza Lyrics "

  • LIKE GOSPEL MUSIC ON FACEBOOK :