"NZE ANI" From NZE ANI
Lyrics:
Verse 1:
Nga aka radio onyongodde nyongodde
Nga akagaali onkanise kanise
Ontadde awawakanirwa Mukama
Ntuula nennewuunya omusaayi gwewayiwa neguntaasa
Abange, nzira awo nennebuuza
Omuntu nga nze
N'obonabona kulwange
Wesala buziina kulwange
N'osalawo ontaase
Chorus:
Nze ani
Gw'oyambazza ekkooti
Njakirira nekaneka
Nze ani
Onfunvubizza ku lusozi balabe
Ekitangala kyase
Nze ani
Gw'oyambaza kabuuti
Empewo enkole kaki
Nze ani
Mmmmmm nze ani
Verse 2:
Ebizibu byensanze eby'enkukunala obimeggamegga
Ebigere byange obisimbye ku lwazi
Enkokoto ontaddeko
Tonganyizza na kwenyenya
Onywezezza
Wandekerawo kawenda mbe mulamu
Nyimukiremu
Mb'ettabaaza mmulise ensi
Ggwe n'osalawo abe nze
Wesalanga buziina kulwange
(Chorus)
Verse 3:
Kati ensi katugirye tugikkute wooli, tutyeki
Oba wayogera kigambo bibeewo katubirye
Nga bwetusinza
Gwe Kabaka eyateesa tubeewo
Walaga mukwano
Wandekerawo kawenda mbe mulamu
Nyimukiremu mb'ettabaaza mulise ensi
(Chorus)
WRITTEN BY
STEVE LEVI
This Week's Top Song
Top 200 Ugandan Gospel Songs Of All Time - Luganda Worship NonStop Mix by Dj Vin Vicent |
GMP Mixes
Downlod Song
Play Song
Trending
RECENT SEARCHES (0)
VIEW ALLFeatured Song
Twalibaddewa |
Grace Nakimera
Downlod Song
Play Song
Comment on "Steve Levi - Nze Ani Lyrics "